2 Kings 17:28-41

28Awo omu ku bakabona eyali awaŋŋangusibbwa okuva mu Samaliya n’agenda n’abeera e Beseri, n’abayigiriza bwe kibagwanira okusinza Mukama.

29 aNewaakubadde nga kabona yagendayo, buli ggwanga beekolera bakatonda baabwe, ne babateeka mu masabo Abasamaliya ge baali bazimbye ku bifo ebigulumivu mu bibuga byabwe. 30Abasajja ab’e Babulooni ne bakola Sukkosubenosi, abasajja ab’e Kuusi ne bakola Nengali, abasajja ab’e Kamasi ne bakola Asima: 31 bAbavi ne bakola Nibukazi ne Talutaki, Abasefavayimu ne bookera abaana baabwe mu muliro, nga babawaayo ng’ebiweebwayo eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda ba Sefavayimu. 32 cBaasinzanga Mukama, naye ne balonda n’abantu ab’engeri zonna okuva mu bokka ne bokka okuba bakabona, ab’ebifo ebigulumivu, abaabaweerangayo ssaddaaka mu masabo ag’ebifo ebigulumivu. 33Ne basinzanga Mukama, naye nga bwe baweereza ne bakatonda baabwe, ng’empisa ez’amawanga gye baali bavudde bwe zalinga.

34 dNe leero bakyeyisa mu ngeri y’emu. Tebasinza Mukama so tebagoberera biragiro n’amateeka Mukama bye yalagira bazzukulu ba Yakobo, gwe yatuuma Isirayiri. 35 eMukama bwe yakola endagaano n’Abayisirayiri, yabalagira nti, “Temusinzanga bakatonda balala, so temubavuunamiranga so temubaweerezanga, wadde okuwaayo ssaddaaka gye bali. 36 fMwekuumenga okugobereranga ebiragiro n’amateeka, n’etteeka, n’ekiragiro bye yabawandiikira. Temusinzanga bakatonda abalala. 37 gNaye musinzanga Mukama eyabaggya mu Misiri n’amaanyi amangi n’omukono gwe, gwe yagolola. Oyo ggwe munavuunamiranga era ne muwaayo ssaddaaka eri ye. 38 hTemwerabiranga endagaano gye nakola nammwe, era temusinzanga bakatonda abalala. 39Wabula musinzanga Mukama Katonda wammwe, kubanga y’anaabalokolanga mu mukono gw’abalabe bammwe bonna.”

40Naye ne batawuliriza, ne beeyongeranga mu mpisa zaabwe ez’edda. 41 iNewaakubadde ng’amawanga ago baasinzanga Mukama, kyokka beeyongeranga okusinza bakatonda baabwe. Ne leero abaana baabwe ne bazzukulu baabwe bakola nga bajjajjaabwe bwe baakolanga.

Copyright information for LugEEEE